EBIRIMU
Ekitundu Ekisooka — Okubuulira
1. Tulina Okusooka Okumanya ebikwata ku Bibi byaffe okununulibwa (Makko 7:8-9, 20-23)
2. Abantu Bazaalibwa Aboonoonyi (Makko 7:20-23)
3. Bwe tukola ebintu okusinziira ku Mateeka, kiyinza okutulokola? (Lukka 10:25-30)
4. Obununuzi Obutaggwaawo (Yokaana 8:1-12)
5. Okubatizibwa kwa Yesu N’Okutangirira Ebibi (Matayo 3:13-17)
6. Yesu Kristo Yajja mu Mazzi, Musaayi, ne Omwoyo Omutukuvu (1 Yokaana 5:1-12)
7. Okubatizibwa kwa Yesu Kye Kifaananyi ky’Obulokozi eri Aboonoonyi (1 Peetero 3:20-22)
8. Enjiri y’okutangirira Okungi (Yokaana 13:1-17)
Ekitundu Ekyokubiri — Omwongera
1. Ennyinyonnyola ey’okugattako
2. Ebibuuzo n’Okuddamu
(Luganda)
Omutwe gw`ekitabo kino omukulu guli ku "kuzaalibwa omulundi ogw`okubiri mu Mazzi ne mu Mwoyo." Ekitabo kino kirina originality ku mulamwa guno. Mu bigambo ebirala, ekitabo kino kitulaga bulungi okuzaalibwa omulundi ogw`okubiri kye kitegeeza era n`engeri y`okuzaalibwa omulundi ogw`okubiri mu mazzi ne mu Mwoyo ng`ekiragiro kya Baibuli bwe kiri. Amazzi galaga okubatizibwa kwa Yesu ku Yoludaani era Baibuli egamba nti ebibi byaffe byonna byaweebwa Yesu bwe yabatizibwa Yokaana Omubatiza. Yokaana yali mubaka w`abantu bonna era muzzukulu wa Alooni, Kabona Asinga Obukulu. Alooni ku Lunaku lw`Okutangirira yateeka emikono gye ku mutwe gw`omwana gw`endiga ogw`ekiweebwayo n`agiwa ebibi byonna eby`omwaka by`Abayisirayiri. Kino kisiikirize ky`ebintu ebirungi ebigenda okujja. Okubatizibwa kwa Yesu kwe kuteeka emikono okw`amazima. Yesu yabatizibwa mu ngeri y`okuteeka emikono ku Yoludaani. Kale yatwala ebibi byonna eby`ensi ng`ayita mu kubatizibwa kwe era n`akomererwa okusasula ebibi ebyo. Naye Abakristaayo abasinga tebamanya lwaki Yesu yabatizibwa Yokaana Omubatiza mu Yoludaani. Okubatizibwa kwa Yesu kye kigambo ekikulu eky`ekitabo kino era kitundu ekitayinza kuggibwawo mu Njiri ey`Amazzi n`Omwoyo. Tuyinza okuzaalibwa omulundi ogw`okubiri nga twesiga okubatizibwa kwa Yesu n`Omusaalaba gwe gwokka.
(Swahili)
Somo kuu la kichwa hiki ni "kuzaliwa mara ya pili kwa Maji na Roho." Kina upekee kwenye mada hii. Kwa maneno mengine, kitabu hiki kinaeleza waziwazi maana ya kuzaliwa mara ya pili na jinsi ya kuzaliwa mara ya pili kwa maji na Roho kwa mujibu wa Biblia. Maji yanaashiria ubatizo wa Yesu katika Mto Yordani na Biblia inaeleza kuwa dhambi zetu zote zilipitishwa kwenda kwa Yesu wakati alipobatizwa na Yohana Mbatizaji. Yohana Mbatizaji alikuwa mwakilishi wa wanadamu wote na mzao wa Haruni, Kuhani Mkuu. Haruni aliweka mikono yake juu ya kichwa cha mbuzi wa Azazeli na kupitisha dhambi zote za mwaka za Waisraeli kwake katika Siku ya Upatanisho. Hii ilikuwa kivuli cha mambo mema yajayo. Ubatizo wa Yesu ni mfano wa kuweka mikono.
Yesu alibatizwa kwa njia ya kuwekwa mikono katika Yordani. Hivyo Yesu alizichukulia mbali dhambi zote za ulimwengu kupitia ubatizo Wake na akasulubiwa ili kulipa kwa ajili ya dhambi hizo. Lakini Wakristo wengi hawajui ni kwa nini Yesu alibatizwa na Yohana Mbatizaji katika Mto Yordani. Ubatizo wa Yesu ndio neno kuu la kitabu hiki na sehemu muhimu sana ya Injili ya Maji na Roho. Tunaweza kuzaliwa mara ya pili kwa kuamini tu ubatizo wa Yesu na Msalaba Wake.
Next
Luganda 2: TUDDEYO KU NJIRI EY’ AMAZZI N’ OMWOYO
Swahili 2: Irudie Injili ya Maji na Roho